Psalms 56:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nakuba obweyamo gy'oli, ayi Katonda, nzija kukutambirira ekitambiro eky'okukwebaza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga emmeeme yange ogiwonyezza okufa. Ebigere byange tobiwonyezza okwesittala; ne ndyoka ntambulira mu maaso ga Katonda mu musana nga ndi mulamu?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga wawonya emmeeme yange okufa, Owonyeezza ebigere byange okwesittala. Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda Mu musana ogw'abantu abalamu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga omponyezza okufa, n'ompanirira obutagwa, ntambulire mu maaso ga Katonda, mu kitangaala ekyakira abalamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga wawonya emmeeme yange okufa: Tewawonya bigere byange okwesittala? Ndyoke ntambule mu maaso ga Katonda mu musana ogw'abantu abalamu.