Psalms 56:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaasira ayi Katonda, abantu banjigganya; olunaku lwonna bannwanyisa, bannyigiriza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abalabe bange bannondoola, bangi bannwanyisa nga bajjudde amalala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba; Kubanga bangi bannwanyisa n'amalala.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abalabe bange bannumba okuva enkya okuzibya obudde. Abeekulumbaza bangi abannwanyisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abalabe bange baagala okummira obudde okuziba: Kubanga abalwana nange n'amalala bangi.