Psalms 56:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olunaku lwonna bafuulafuula ebigambo byange; ebirowoozo byabwe byonna biri ku kunkolera bubi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beekobaana ne bateesa, banneekwekerera ne bawuliriza enswagiro zange; nga bannindirira banzite.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Beekuŋŋaanya ne beekweka, ne baketta buli kye nkola nga bateega okunzita.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Beekuŋŋaanya, beekweka, Bakebera ebisinde byange, Nga bwe baateega emmeeme yange.