Psalms 56:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Beekoba, baliimisa, ne bekkaanya buli kigere kye nsimbula, nga beesunga okunzita.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tobakkiriza kudduka ne bawona; mu busungu bwo, Ayi Katonda, osuule amawanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu bwo suula amawanga, Ayi Katonda!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, babonereze olw'ebibi byabwe. Mu busungu bwo, wangula abantu abo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Baliwona olw'obutali butuukirivu? Mu busungu suula amawanga, ai Katonda.