Psalms 57:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nkoowoola Katonda Ali Waggulu Ddala, eri Katonda atuukiriza by'antegekera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Alisinzira mu ggulu n’andokola, n’amponya abo abampalana. Katonda anandaganga obwesigwa bwe n’okwagala kwe okutaggwaawo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Aliswaza abo abaagala okummira; Katonda alituma okusaasira kwe n'amazima ge!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Alisinziira mu ggulu eyo n'andokola, aliwangula abandoobya. Katonda alindaga ekisa kye, alindaga bwe yeesigibwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alituma ng'ayima mu ggulu, n'andokola, Oyo ayagala okummira bw'anvuma; (Seera) Katoada alituma okusaasira kwe n'amazima ge.