Psalms 58:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Lugenda nga 'Tozikiriza'. Ya Dawudi. Mikutamu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ddala mwogera eby’amazima oba musirika busirisi? Abaana b’abantu mubasalira emisango mu bwenkanya?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mulagira ebituufu mwe ba katonda? Mulamula abaana b'abantu mu mazima?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mmwe abafuzi, musala bulungi emisango? Abantu mubalamula mu bwenkanya?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okwogera mwogera eby'obutuukirivu nga musirika? Musala omusango ogw'amazima, mmwe abaana ba bantu?