Psalms 58:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Empewo ey'akazimu ebakuŋŋunse mbagirawo nga bw'ekola enkenene n'amatovu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Omutuukirivu alisanyuka ng’alabye bamuwalanidde eggwanga, olwo n’ebigere bye ne bisaabaana omusaayi ogw’abakola ebibi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abatuukirivu balyesiima bwe baliraba aboonoonyi bwe babonerezebwa. Balirinnya mu musaayi gw'ababi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Omutuukirivu alisanyuka, bw'aliraba okuwalana okwo: Alinaaba ebigere bye mu musaayi gw'ababi.