Psalms 58:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abatuukirivu balisanyuka nga balaba eggwanga liwooleddwa, bwe balinaaza ebigere byabwe mu musaayi gw'ababi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Awo abantu bonna balyogera nti, “Ddala, abatuukirivu balwanirirwa. Ddala waliwo Katonda alamula mu bwenkanya ku nsi.”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa; Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu baligamba nti: “Ddala abatuukirivu bafuna empeera. Ddala Katonda waali, asala omusango mu nsi!”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu ne balyoka boogera nti Mazima waliwo empeera omutuukirivu gy'aliweebwa: Mazima waliwo Katonda asala omusango mu nsi.