Psalms 58:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Obusagwa bwabwe buli nga bwa musota, buli ng'obusagwa bw'essalambwa erizibiikiriza amatu gaalyo,
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
n’etawulira na luyimba lwa mukugu agisendasenda okugikwata.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
ne litawulira ddoboozi lya mukwasi wa misota, oba ery'omulozi omukugu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Eritawulira ddoboozi lya balozi, Newakubadde nga baloga n'amagezi mangi gatya.