Psalms 58:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
eritawulira ddoboozi ly'abaligulika, ery'omulogo omukugu mu kuloga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe; owangulemu amannyo g’empologoma zino, Ayi Mukama.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda, menya amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe; Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, Ayi Mukama!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, bakuulemu amannyo, menya amannyo, ayi Mukama, ag'empologoma ezo enkambwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda, omenye amannyo gaabwe mu bumwa bwabwe: Omenyere ddala amasongezo g'empologoma ento, ai Mukama.