Psalms 58:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Babulewo ng'ekkovu bwe likereketa ne liggweerera, babe ng'olubuto oluvuddemu, olutaalaba ku njuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nga n’entamu tennabuguma, alibayerawo n’obusungu obungi nga kibuyaga ow’amaanyi ennyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Oba ga kiragala, oba g'akwokebwa, gonna agasaanyewo!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Balimibwewo ng'omuddo, nga tebannamanya. Katonda abasunguwalire nnyo, abasaanyeewo nga balaba.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Entamu zammwe nga tezinnabuguma n'amaggwa, Aligaggirawo ddala n'embuyaga, amabisi n'ago agaaka gonna.