Psalms 59:11 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Katonda anjagala. Katonda alinkulemberamu, Katonda alimpa ne neeyagalira ku balabe bange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Tobatta, Ayi Mukama, engabo yaffe, abantu bange baleme kwerabira; mu buyinza bwo obungi, baleke batangetange; n’oluvannyuma obakkakkanyize ddala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Tobatta, ayi Katonda, abantu bange baleme okwerabira; Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ayi Mukama ggwe engabo yaffe!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Tobatta, ayi Katonda, sikulwa ng'abantu bange beerabira. Basaasaanye n'amaanyi go, obawangule, ayi ggwe Katonda atutaasa ng'engabo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Tobatta, abantu bange baleme okwerabira: Obasaasaanye n'amaanyi go, obatoowaze, Ai Mukama engabo yaffe.