Psalms 59:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olw'ekibi ky'akamwa kaabwe, olw'ebigambo by'emimwa gyabwe, bakwatirwe mu kwekuza kwabwe, olw'okuvumirira n'obulimba bye boogera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bamaleewo n’ekiruyi kyo, bamalirewo ddala; amawanga gonna galyoke gategeere nga Katonda wa Yakobo y’afuga ensi yonna.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate, Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ggwe bazikirize mu busungu bwo, bazikirize baggweerewo ddala, abantu bonna balyoke bamanye nti Katonda ye afuga mu Yisirayeli, ne mu mawanga gonna ku nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Obazikirize mu busungu, obazikirize, balemenga okubaawo nate: Era bategeerenga nga Katonda afugira mu Yakobo, Okutuuka ku nkomerero z'ensi. (Seera)