Psalms 59:16 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bayitaayita nga banoonya ebyokulya; bwe batakkuta, ne batolooma.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye nze nnaayimbanga nga ntendereza amaanyi go; mu makya nnaayimbanga ku kwagala kwo; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe kiddukiro kyange mu buzibu bwange.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye nze nnaayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, nnaayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya. Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye nze nnaayimbanga okutenda amaanyi go. Buli nkya nnaayimbanga okutenda ekisa kyo, kubanga obadde kiddukiro kyange, mwe nneekweka nga ndi mu buzibu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye nze naayimbanga ku maanyi go; Weewaawo, naayimbiranga ddala ku kusaasira kwo enkya: Kubanga wali kigo kyange ekiwanvu, N'ekiddukiro ku lunaku olw'okutegana kwange.