Psalms 59:17 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye nze nzija kuyimba amaanyi go, ku makya nditendereza ekisa kyo, kubanga ggwe kigo kyange, obuddukiro bwange ku lunaku olw'obuyinike.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ggwe, Ayi Katonda, Amaanyi gange, nnaakuyimbiranga nga nkutendereza; kubanga ggwe kigo kyange, era ggwe Katonda wange, anjagala.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ggwe, Ayi amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza, Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda andaga okusaasira kwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nnaayimbanga okukutendereza ggwe antaasa, kubanga ggwe ayi Katonda, onjagala, era ggwe kiddukiro kyange.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ggwe, ai amaanyi gange, gwe nnaayimbiranga okukutendereza: Kubanga Katonda kye kigo kyange ekiwanvu, Katonda wa kusaasirwa kwange.