Psalms 59:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mponya abakola obubi; ntaasa abantu abayiwa omusaayi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba banneekwekeredde nga banteega okunzita. Abasajja ab’amaanyi abakambwe banneekobera, Ayi Mukama, so nga soonoonye wadde okubaako ne kye nsobezza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba. Si lwa kwonoona kwange, wadde ekibi kyange, Ayi Mukama.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
kubanga laba, banteeze banzite. Ab'amaanyi beekobye okunnumba nga sirina kibi na musango, ayi Mukama.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga, laba, bateega emmeeme yange; Ab'amaanyi bakuŋŋaana okunnumba: Si lwa kyonoono kyange, so si lwa kibi kyange, ai Mukama.