Psalms 59:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bakomawo akawungeezi nga bawuluguma ng'embwa, ne bagoma mu kibuga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Laba, bwe bavuma! Ebigambo biwamatuka mu kamwa kaabwe ng’ebitala, nga boogera nti, “Ani atuwulira?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe, Kubanga boogera nti Ani anatuwulira?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Baabo bavuma era batiisatiisa, olulimi lubali ng'ekitala mu kamwa kaabwe. Balowooza nti tewali abawulira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Laba, beebajjagala n'akamwa kaabwe; Ebitala biri mu mimwa gyabwe: Kubanga boogera nti Ani awulira?