Psalms 6:1 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Eri omuyimbisa. Ya bivuga eby'enkoba. Ku lutamba olwomunaana. Zabbuli ya Dawudi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Mukama, tonnenya ng’ojjudde obusungu; so tombonereza mu kiruyi kyo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde, Era tombonerereza mu busungu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Mukama, tonnenya ng'osunguwadde, era tombonereza ng'okambuwadde.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Mukama; tonnenya mu busungu bwo, So tombuulirira mu kiruyi kyo ekibuubuuka.