Psalms 6:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Nsaasira, ayi Mukama, kubanga ndi muyongobevu; mponya, ayi Mukama, kubanga amagumba gange gameketa;
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Emmeeme yange ejjudde ennaku. Olirindirira kutuusa ddi olyoke onnyambe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo, Naye, ayi Mukama, olimala bbanga ki olyoke onnyambe?
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwoyo gwange gweraliikiridde nnyo. Naye ayi Mukama, olimala bbanga ki nga tonnannyamba?
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'emmeeme yange yeeraliikiridde nnyo: Naawe, ai Mukama, olituusa wa?