Psalms 60:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Mowabu lwe luleeba mwe nnaabira; ku Edomu kwe nkasuka engatto zange; ku Filisitiya, ndikuba emizira.”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Si ggwe Ayi Katonda, atusudde, atakyatabaala na magye gaffe?
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otuvuddemu, Ayi Katonda? So tokyatabaala na ggye lyaffe, Ayi Katonda.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Otuvuddemu ayi Katonda? Tokyatambulira wamu na magye gaffe ayi Katonda.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Totusudde, ai Katonda? So totabaala, ai Katonda, n'eggye lyaffe.