Psalms 60:12 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Si ggwe, Katonda eyatwessammula, ayi Katonda, atakyagenda na magye gaffe?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bwe tunaabeeranga ne Katonda, tunaabanga bawanguzi, kubanga ye y’anaalinnyiriranga abalabe baffe wansi w’ebigere bye.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda ye anaatukozesaanga eby'obuzira; Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga abalabe baffe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nga Katonda ali ku ludda lwaffe tuliba ba maanyi. Ye alirinnyirira abalabe baffe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda ye anaatukozanga eby'obuzira: Kubanga oyo ye anaalinnyiriranga ku balabe baffe.