Psalms 60:2 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Lwe yalwanyisa Aramu Nakarayimu ne Aramu-Zoba, ne Yowabu lwe yadda amale agobe Edomu mu Kiwonvu ky'Omunnyo, n'atta abasajja omutwalo gumu mu enkumi bbiri.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ogiyuuguumizza n’ogyasaayasa; tukwegayirira enjatika ozizibe, kubanga ekankana.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Wakankanya ensi; n'ojabuluzaamu; Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Okankanyizza ensi n'ogyasaayasa. Kaakati ziba enjatika zaayo, kubanga yeeyabyamu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Wakankanya ensi; wagyasa: Ozibe enjatika zaayo; kubanga eyuuga.