Psalms 60:3 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, watwesammula, n'otwabyamu; wasunguwala; tuzzeewo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Obadde mukambwe nnyo eri abantu bo; tuli nga b’owadde omwenge omungi ne gututagaza.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Olese abantu bo okubonaabona ne ebigambo ebizibu; Otunywesezza omwenge, ogutuleteedde okutagatta.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu bo otulese ne tubonaabona nnyo, tutalantuka ng'abatamiivu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Abantu bo obalaze ebigambo ebizibu: otunywesezza omwenge ogw'okutagatta.