Psalms 60:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Wayuuguumya ensi n'ogyabuluzaamu; ddaabiriza enjatika zaayo, kubanga yiino enyegenya.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye abo abakutya obawanikidde ebbendera okuba akabonero akabakuŋŋaanya awamu, era akatiisa abalabe baabwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Otaddewo ebendera eri abo abakutya, Ekifo ekisinziirwako okulumba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Olabudde abakussaamu ekitiibwa basobole okuwona akabi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Owadde ebendera abo abakutya, Eyolesebwe olw'amazima. (Seera)