Psalms 60:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Naye abakutya wabateerawo ebendera, baddukire eyo okwewonya omutego gw'akasaale.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Katonda ayogedde ng’asinziira mu kifo kye ekitukuvu, n’agamba nti, “Mu buwanguzi, ndisala mu Sekemu, era n’ekiwonvu kya Sukkosi ndikigabanyagabanyaamu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza; Ndigabanya mu Sekemu, era ndigabaagaba ebitundu by'ekiwonvu ekya Sukkosi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Katonda yayogerera mu kifo kye ekitukuvu n'agamba nti: “Ndijaguza nga ngabanya mu Sekemu, ne ngaba ebitundu by'ekiwonvu Sukkoti.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Katonda yayogera mu butukuvu bwe; nti Ndijaguza: Ndisala mu Sekemu, era ndigabaagaba ekiwonvu ekya Sukkosi.