Psalms 60:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baganzi bo balyoke balokolebwe, tuwonye n'omukono gwo ogwa ddyo, otuwulire.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ya Gireyaadi yange, n’eya Manase nayo yange. Efulayimu ye nkufiira ey’oku mutwe gwange; ate Yuda gwe muggo gwange ogw’okufuga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Gireyaadi wange, era ne Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Gileyaadi nsi yange, ne Manasse yange. Efurayimu ye nkuufiira yange, Buyudaaya gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Gireyaadi wange, era Manase wange; Efulayimu naye yakuuma omutwe gwange; Yuda gwe muggo gwange ogw'obwakabaka.