Psalms 61:2 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, wuliriza omulanga gwange, ssa omwoyo ku ssaala yange.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nkukoowoola okuva ku nkomerero y’ensi, omutima gwange nga gugenda gunafuwa. Onkulembere ontuuse ku lwazi olunsinga obuwanvu mwe nnyinza okwekweka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nga nsinziira ku nkomerero z'ensi nnaakukoowoolanga, omutima gwange bwe gunaazirikanga. Ntwala ku lwazi olunsinga obuwanvu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Nkuyita nga ndi wala n'ewaffe, era nga nterebuse. Ntwala mu kifo ekyesiifu,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Nga nnyima ku nkomerero z'ensi naakukoowoolanga; omutima gwange bwe gunaazirikanga: Onnuŋŋamye eri ejjinja erinsinga obugulumivu.