Psalms 61:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Kubanga ggwe buddukiro bwange, omunaala ogw'amaanyi okulwanyisa omulabe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Nnaabeeranga mu weema yo ennaku zonna; ndyoke nkuumirwenga mu biwaawaatiro byo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Nnaatuulanga mu weema yo emirembe gyonna! Ndyoke mbeere mirembe mu bukuumi bw'ebiwaawaatiro byo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ka mbeerenga mu weema yo ennaku zonna, nneekwekenga mu biwaawaatiro byo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naatuulanga mu weema yo emirembe gyonna: Neeyunanga ekisiikirize eky'ebiwaawaatiro byo. (Seera)