Psalms 61:7 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ennaku za kabaka zongereko obuwanvu, emyaka gye gimale amazadde mangi.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
alyoke abeerenga mu maaso ga Katonda ennaku zonna. Okwagala kwo n’obwesigwa bwo bimukuumenga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Attikirwe engule emirembe gyonna mu maaso ga Katonda ennaku zonna; Leka okwagala okutuukiridde n'amazima, bimukuume.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
afuge ng'ali mu maaso go ennaku zonna. Ayi Katonda, ggwe ow'ekisa era omwesigwa, mukuumenga,
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Alibeerera mu maaso ga Katonda ennaku zonna: Kale teekateeka ekisa n'amazima, biryoke bimuwonye.