Psalms 62:10 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abaana ba Adamu mukka bukka; abaana b'abantu baguya buguya. Mu minzaani bawewuka buwewusi; bonna wamu mukka bukka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Temwesigamanga ku bujoozi wadde ku bintu ebibbe. Temuyitirira okwewaanirawaanira mu bugagga bwammwe ne bwe bweyongeranga, era temubumalirangako mwoyo gwammwe.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga; Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Temwesiganga bunyazi, n'okubba temukweyinulanga. Obugagga ne bwe bweyongera obungi, temubwesigulanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Temwesiganga kujooga, Temugobereranga ebitaliimu mu kunyaga: Obugagga bwe buneeyongeranga, temubussangako mwoyo.