Psalms 62:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Munaatuusa wa okusitukira mu muntu? Mwenna mumusuule wansi ng'ekisenge ekibunduukiridde, nga bbugwe anyeenya?
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bateesa okumuggya mu kifo kye ekinywevu, basanyukira eby’obulimba. Basaba omukisa n’emimwa gyabwe so nga munda bakolima.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba. Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima mu mitima gyabwe.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Kiri kimu kye muteesa: kumuwanula ku bukulu bwe. Musanyukira eby'obulimba, mwogera ebimusabira omukisa, naye mu mutima mumukolimira.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kino kyokka kye bateesa okumujeeza mu bukulu bwe; Basanyukira eby'obulimba: Boogera eby'omukisa n'akamwa kaabwe, naye bakolima munda.