Psalms 62:9 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi abantu, musuubire mu ye obudde bwonna; mwogere byonna ebibali ku mutima; kubanga Katonda bwe buddukiro bwaffe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abaana b’abantu mukka bukka, abazaalibwa mu bugagga bulimba bwereere; ne bwe bageraageranyizibwa ku minzaani, n’omukka gubasinga okuzitowa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba; Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ddala abantu mukka bukka. Ne bwe baba baakitiibwa, bawewuka mu minzaani, omukka gubasinga obuzito.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Mazima abantu abatali ba kitiibwa gwe mukka, n'abo ab'ekitiibwa ekingi bwe bulimba: Bwe baliteekebwa mu kigera, baliyimuka; Bombiriri omukka gubasinga okuzitowa: