Psalms 63:1 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Zabbuli ya Dawudi. Lwe yali mu ddungu lya Yuda.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ayi Katonda, oli Katonda wange, nkunoonya n’omutima gwange gwonna; emmeeme yange ekwetaaga, omubiri gwange gwonna gukuyaayaanira, nga nnina ennyonta ng’ali mu nsi enkalu omutali mazzi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ayi Katonda, ggwe oli Katonda wange; nnaakeeranga okukunoonya: Emmeeme yange erumwa ennyonta ku lulwo, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, ggwe Katonda wange, nkulumirwa omwoyo. Obulamu bwange bukwetaaga ng'ensi enkalu erakasidde, bwe yeetaaga amazzi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ai Katonda, ggwe oli Katonda wange; naakeeranga okukunoonya. Emmeeme yange erumwa ennyonta eri ggwe, omubiri gwange gwegomba ggwe, Mu nsi enkalu ekooyesa, omutali mazzi.