Psalms 63:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Baliweebwayo mu buyinza bw'ekitala; balifuuka migabo gya bibe.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye ye kabaka anaajagulizanga mu Katonda; bonna abalayira mu linnya lya Katonda banaatenderezanga Katonda, naye akamwa k’abalimba kalisirisibwa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye kabaka alisanyukira Katonda; Buli alayira Katonda alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye kabaka alisanyuka, olw'ebyo Katonda by'akola. Buli alayira Katonda alyenyumiriza. Aboogera eby'obulimba baliggalwa akamwa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye kabaka alisanyukira Katonda: Buli amulayira ye alyenyumiriza; Kubanga akamwa k'abo aboogera eby'obulimba kalizibibwa.