Psalms 63:3 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bwe ntyo nakulaba mu kitukuvu, ne ndaba amaanyi go n'ekitiibwa kyo.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Kubanga okwagala kwo okutaggwaawo kusinga obulamu; akamwa kange kanaakutenderezanga.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kubanga okwagala kwo okutuukiridde kusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ekisa kyo kinkirira obulamu bwennyini. Nnaakutenderezanga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kubanga ekisa kyo kiwooma okusinga obulamu; Emimwa gyange ginaakutenderezanga.