Psalms 64:4 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abawagala ennimi zaabwe ng'ebitala; abalasa ng'obusaale bwabwe ebigambo ebibalagala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beekweka ne bateega oyo atalina musango bamulase; amangwago ne bamulasa nga tebatya.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Balasa mu kyama oyo eyatuukirira, Baamulasa nga talaba, ne batatya.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
atalina musango bamulasize we beekwese. Bamugwako nga talaba, tebatya.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Balasize oyo eyatuukirira mu bifo eby'ekyama: Baamulasa nga talaba, ne batatya.