Psalms 64:5 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Balasa mu nkiso ataliiko musango; bamufumita mangu awatali kye beekengera.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Bawagiragana mu kigendererwa kyabwe ekibi ne bateesa okutega emitego mu kyama; ne boogera nti, “Ani asobola okutulaba?”
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Bagumyagana emyoyo nga bateesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti, “Ani anaagiraba?”
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Mu kuteesa ekibi bagumyagana: bateesa we banaateeka emitego gyabwe mu kyama, ne bagamba nti: “Ani anaagiraba?”
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Bagumyagana emyoyo mu kuteesa obubi; Bateesa okutega emitego mu kyama; Boogera nti Anaagiraba ani?