Psalms 64:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bagumyaŋŋana mu nkwe zaabwe embi; basalaasala ag'okutega emitego mu nkiso nga bagamba nti: “Ani anaatulaba?”
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Beekobaana okukola ebitali bya bwenkanya, ne boogera nti, “Tukoze enteekateeka empitirivu.” Ddala ddala ebirowoozo by’omuntu n’omutima gwe byekusifu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ani ayinza okunoonyereza ku misango gyaffe? Tulowoozezza ku ntegeka ennekusifu. Kubanga okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biba bye buziba!
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Bateesa ekibi ne bagamba nti: “Entegeka eno gye tukoze, tewali kinaagirema.” Ebirowoozo by'omuntu mu mutima gwe munda, nga ddala bituuka wala!
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Banoonya ebitali bya butuukirivu; boogera nti Tumaze okunoonyeza ddala nga tufuba: N'okulowooza okw'omunda okwa buli muntu, n'omutima gwabwe, biri ng'obuziba.