Psalms 64:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Bateesa kukola bubi, ne bagamba nti: “Tutegese olukwe olutuufu.” Ddala emmeeme y'omuntu n'omutima gwe tebyefumiitirizika.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Naye Katonda alibalasa n’obusaale bwe; alibafumita, mangwago ne bagwa ku ttaka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n'akasaale nga tebalowooza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Naye Katonda alibalasa n'obusaale ne bafumitibwa mbagirawo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Naye Katonda alibalasa; Balifumitibwa n’akasaale nga tebalowooza.