Psalms 65:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Olambula ettaka n'olifukirira; oliwa obugimu bwa kitalo. Omwala gwa Katonda gujjudde amazzi, liwe ensi eŋŋano; anti bw'oti bwe walitegeka.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otonnyesa enkuba mu nnimiro, n’ojjuza ebitaba byamu; n’ogonza ettaka, ebibala by’omu nsi n’obiwa omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa embibi zaayo, Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Obulime bwayo obufukirira amazzi mangi ne bugonda. Ettaka olinnyikiza enkuba n'okuza ebirime byalyo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ofukirira ensalosalo zaayo amazzi amangi; Olongoosa ebibibi byayo: Ogigonza n'oluwandaggirize; Okuwa omukisa okumera kwayo.