Psalms 65:11 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ofukirira empangi zaalyo, n'okuba amafunfugu gaalyo; oligonza n'oluwandaggirize, n'owa omukisa bye limeza.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ofundikira omwaka n’amakungula amangi, ebigaali ne bigenda nga byetisse ebibala nga bikubyeko.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; Ebigaali by'amagaali go bitirika amasavu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Omwaka ogujjuza ebirungi byo, buli w'oyita olekawo ekyengera.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oteeka engule ku mwaka, bwe bulungi bwo; N'amakubo go gatonnyesa obugimu.