Psalms 65:13 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amalundiro g'omu nkoola gatonnyolokoka, n'obusozi bwekindikidde essanyu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amalundiro gajjula ebisibo, n’ebiwonvu ne bijjula emmere ey’empeke. Ensi yonna eyimba mu ddoboozi ery’omwanguka ng’ejjudde essanyu.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Amalundiro gajjudde ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano; Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amalundiro gajjudde amagana, n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano. Buli kintu kisaakaanya nga kiyimba olw'essanyu.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Amalundiro gambala ebisibo; Era n'ebiwonvu bibikkiddwa eŋŋaano: Byogerera waggulu olw'essanyu, era biyimba.