Psalms 65:5 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Yeesiimye gw'olonda n'omusembeza, asule mu mbuga zo. Tulikkuta ebirungi by'omu nnyumba yo, eby'omu Kiggwa kyo ekitukuvu.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Otwanukula n’ebikolwa byo eby’obutuukirivu eby’entiisa n’otulokola, Ayi Katonda ow’obulokozi bwaffe; ggwe ssuubi ly’abo abali mu nsi yonna n’abo bonna abali ewala mu nnyanja zonna,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
N'ebigambo eby'entiisa otwanukula mu butuukirivu, Ayi Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe essuubi ly'enkomerero zonna ez'ensi, era n'ennyanja eziri ewala;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda Omulokozi waffe, otwanukula ng'otununula n'ebikolwa eby'entiisa. Abantu bonna ku nsi n'abali emitala w'amayanja beesiga ggwe.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
N'ebigambo eby'entiisa olituddamu mu butuukirivu, Ai Katonda ow'obulokozi bwaffe; Ggwe enkomerero zonna ez'ensi gwe zeesiga, N'abo abali ewala ku nnyanja: