Psalms 65:6 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Otwanukula n'eby'entiisa by'obutuukirivu bwo, ayi Katonda, Omulokozi waffe, essuubi ly'enkingi z'ensi yonna n'ennyanja ez'ewala.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
ggwe, eyakola ensozi n’obuyinza bwo, n’ozinyweza n’amaanyi go,
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge, Nga yeesibye obuyinza;
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Oli wa maanyi, era obuyinza bwo bwe bunyweza ensozi mu bifo byazo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Oyo yanyweza ensozi n'amaanyi ge: Nga yeesiba obuyinza: