Psalms 65:8 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ggwe asirisa okuwuluguma kw'ennyanja, okuwuluguma kw'amayengo gaayo, n'okwegugunga kw'amawanga.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Abo bonna ababeera ewala balaba ne batya ebyewuunyo byo; ne bakuyimbira ennyimba ez’essanyu okuva ku makya okutuusa akawungeezi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo; Ggwe aleetera okufuluma kw'enkya n'okwakawungeezi, okuyimba n'essanyu.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Abantu mu nsi zonna batya ebyamagero by'okola. Obajjuza essanyu okuva ku makya okutuusa olweggulo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Era n'abo abatuula ku nkomerero z'ensi batya olw'obubonero bwo: Ggwe osanyusa emiryango gy'enkya n'egy'akawungeezi.