Psalms 65:9 — Compare Translations
5 translations compared side by side
Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Abo abasula ku nkingi ez'ewala batya ebikuuno byo; oleetera okujaganya obuvanjuba n'obugwanjuba.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi ogirabirira n’ogifukirira n’egimuka nnyo. Emigga gya Katonda gijjudde amazzi, okuwa abantu emmere ey’empeke, kubanga bw’otyo bwe wakiteekateeka.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi; Obawa eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ayi Katonda, olambula ensi n'ogifukirira, era n'ogigaggawaza nnyo. Emigga ogijjuza amazzi. Oteekateeka ensi bw'otyo, n'olabirira ebirime byayo.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Okyalira ensi, n'ogifukirira, Ogigaggawaza nnyo; Omugga gwa Katonda gujjudde amazzi: Obalabira eŋŋaano, ng'omaze okulongoosa ensi bw'otyo.