Psalms 66:7 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Emirembe gyonna afuga n'obuyinza bwe, amaaso ge gekkaanya amawanga; abajeemu tebamwewanikako.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Afuga n’amaanyi ge emirembe gyonna; amaaso ge agasimba ku mawanga, ab’omutima omujeemu baleme okumujeemera.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga, Abajeemu balemenga okwegulumiza.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna, ne yeekaliriza amawanga, abajeemu balemenga okwegulumiza.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Afuga n'amaanyi ge emirembe gyonna; Amaaso ge gatunuulira amawanga: Abajeemu balemenga okwegulumiza. (Seera)