Psalms 67:4 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gakugulumize, ayi Katonda; amawanga gonna gakugulumize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Amawanga gonna gasanyuke, gayimbe nga gajjudde essanyu. Kubanga ofuga abantu bonna mu bwenkanya, n’oluŋŋamya amawanga ag’ensi.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu, Kubanga osalira abantu emisango n'obwenkanya, Era oluŋŋamya amawanga gonna mu nsi.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Amawanga gasanyukenga, gayimbenga olw'essanyu kubanga osalira abantu emisango mu bwenkanya, era ofuga amawanga gonna mu nsi.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Kale, amawanga gasanyukenga gayimbenga olw'essanyu: Kubanga olisalira abantu emisango egy'ensonga, Era olifugira amawanga mu nsi. (Seera)