Psalms 67:6 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Amawanga gakugulumize, ayi Katonda; amawanga gonna gakugulumize.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
Ensi erireeta amakungula gaayo; era Katonda, Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ensi ereese ekyengera kyayo; Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
Ensi ebazizza ebibala bingi, Katonda, Katonda waffe atuwadde omukisa.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ensi ereese ekyengera kyayo: Katonda, ye Katonda waffe, anaatuwanga omukisa.