Psalms 68:10 — Compare Translations

5 translations compared side by side

Luganda (BIBU1) (BIBULIYA ENTUKUVU)
Ayi Katonda, watonnyesa enkuba ey'omwero; wazza amaanyi mu busika bwo obuyongobedde.
Luganda (EEEE) (Endagaano Enkadde n’Endagaano Empya)
abantu bo ne babeera omwo; era olw’ekisa kyo ekingi, Ayi Katonda, abaavu ne bafuna bye beetaaga okuva ku bugagga bwo.
Luganda (LBR) (EKITABO EKITUKUVU, BAIBULI)
Ekibiina kyo kyatuula omwo; Ggwe, Ayi Katonda, wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.
Luganda (Luganda Bible 2003) (LB03)
abantu bo ne basenga omwo. Olw'ekisa kyo, abaavu wabawa bye beetaaga.
Luganda 1968 (Ekitabo Ekitukuvu ekiyitibwa Baibuli Endagaano Enkadde n'Empya)
Ekibiina kyo kyatuula omwo: Ggwe, ai Katonda; wateekerateekera abaavu olw'obulungi bwo.